Sign in
Sign in
Sign in
Select Language
009

At-Tawbah 9:102 واخرون اعترفوا بذنوبهم خلطوا عملا صالحا واخر سييا عسى الله ان يتوب عليهم ان الله غفور رحيم ١٠٢

9:102
وَءَاخَرُونَ
ٱعۡتَرَفُواْ
بِذُنُوبِهِمۡ
خَلَطُواْ
عَمَلٗا
صَٰلِحٗا
وَءَاخَرَ
سَيِّئًا
عَسَى
ٱللَّهُ
أَن
يَتُوبَ
عَلَيۡهِمۡۚ
إِنَّ
ٱللَّهَ
غَفُورٞ
رَّحِيمٌ
١٠٢
(Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Katonda ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.
Continue Reading

Read Tafsir

Ibn Kathir (Abridged)

Some Believers stayed away from Battle because They were Lazy

After Allah explained the characteristics of the hypocrites who stayed away from battle because they sought to avoid it out of denial and doubt, He then mentioned the disobedient who stayed away from Jihad due to laziness and preferring co

…

Some Believers stayed away from Battle because They were Lazy

After Allah explained the characteristics of the hypocrites who stayed away from battle b

…
More Tafsirs

Read in Context

Chapter 9, Page 203, Juz 11

100. N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Katonda yabasiima nabo ne bamusiima, era Katonda yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu. 101. Ne mw'abo ababeetoolodde mu ba nnamalungu mulimu abannanfusi ne mu batuuze be Madinah mulimu abaagugubira ku bunnanfusi, nga ggwe tobamanyi, ffe nno tubamanyi. Tujja kubabonereza e mirundi e biri (kuno ku nsi n'okubaswaza n'ebibonerezo byo mu Kabuli oluvanyuma lw'okufa), oluvanyuma baakuzzibwa eri e bibonerezo e bisuffu. 102. (Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Katonda ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira. 103. (Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo mumanyi nnyo. 104. Tebamanyi nti mazima Katonda yye, yakkiriza okwenenya kwa baddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Katonda yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo. 105. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mukole, Katonda ajja kulaba e mirimu gya mmwe n’omubakawe n’abakkiriza era nga muli ba kuzzibwa eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabikako olwo alyoke abategeeze, ebyo bye mwali mukola. 106. (N'abalala mw'abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) baalekerwa kusalawo kwa Katonda, oba agenda kubabonereza oba alikkiriza okwenenya kwa bwe. Mazima Katonda mumanyi nnyo mugobansonga. 107. N'abo (Abannanfusi) abaateekawo omuzikiti ogw'obulabe n’olwobukaafiiri, era n’olwokwawulayawula mu bakkiriza n’olwokutegekera oyo eyalwanyisa Katonda n'omubakawe oluberyeberye, era bajja kulayirira ddala nti tetulina kigendererwa okugyako obulungi, so nga Katonda amanyi nti mazima bo balimbira ddala. 108. Bulijjo toyimiriranga (Ggwe Nabbi) okusaalira mu gwo, mazima omuzikiti ogwazimbibwa ku musingi ogw'okutya Katonda kuntandikwa gw'oteekwa okusaalirangamu, mu muzikiti ogwo mulimu abasajja abaagala okwetukuza, anti bulijjo Katonda ayagala abeetukuza. 109. Abaffe oyo eyatandika omusingi gw'ekizimbekye ku lw'ekigendererwa ky'okutya Katonda n'okusiimakwe yaasinga obulungi oba oyo eyatandikawo omusingi gw'ekizimbekye ku nsonda y'ekifunvu nekimusuula mu muliro Jahannama, Katonda talungamya bantu beeyisa bubi. 110. Ekizimbe Abannanfusi kye baazimba kijja kusigala nga kya kubuusabuusa mu mitima gya bwe okutuusa okufa kwa bwe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

- African Development Foundation

Notes and Reflections

You do not have any notes or reflections on this verse.

Notes placeholders

Stay Connected to the Quran ❤️

Short meaningful reminders to reset, reflect and stay connected to the Quran.

Read, Listen, Search, and Reflect on the Quran

Quran.com is a trusted platform used by millions worldwide to read, search, listen to, and reflect on the Quran in multiple languages. It provides translations, tafsir, recitations, word-by-word translation, and tools for deeper study, making the Quran accessible to everyone.

As a Sadaqah Jariyah, Quran.com is dedicated to helping people connect deeply with the Quran. Supported by Quran.Foundation, a 501(c)(3) non-profit organization, Quran.com continues to grow as a free and valuable resource for all, Alhamdulillah.

Navigate
Home
Quran Radio
Reciters
About Us
Developers
Product Updates
Feedback
Help
Donate
Our Projects
Quran.com
Quran For Android
Quran iOS
QuranReflect.com
Quran.AI
Sunnah.com
Nuqayah.com
Legacy.Quran.com
Corpus.Quran.com
Non-profit projects owned, managed, or sponsored by Quran.Foundation
Popular Links
Duas from the Quran
Quran Verse of the Day
Ayatul Kursi
Yaseen
Al Mulk
Ar-Rahman
Al Waqi'ah
Al Kahf
Al Muzzammil
SitemapPrivacyTerms and Conditions
© 2026 Quran.com. All Rights Reserved
Contribute